Indirimbo ya 413 mu CATHOLIC LUGANDA
413. OBUFUMBO
Ekidd: | |
: Obufumbo bwava wa Katonda Kitaffe Obufumbo bugatta ababiri abaagalana Ddala ddala – Nga Kristu bw’ali n’Eklezia Era tebagenda kugattululwa. | |
1. | 1. Ekyamagero ekyamagero kiikino – Yee Obufumbo Kristu Omukama yabutukuza – Ddala Bwafuuka kabonero ak‟amakulu – Yee Aka Kristu, n‟Eklezia – Ddala Oyo gwe yanunula n‟amutukuza. |
2. | 2. Ekyamagero abasajja mukiwulire – Yee Obufumbo Kristu Omukama yabutukuza – Ddala Mwagalanga bakazi bammwe, muli omubiri gumu – Yee Akyawa mukazi we, olwo nga yeekyaye – Ddala Labira ku Mukama alyoowa Eklezia. |
3. | 3. Ekyamagero abakyala bino byammwe – Yee Obufumbo buba bwa babiri abalagaanye – Ddala Omutwe gw‟omukazi abeera musajja- Yee Ne Kristu gwe mutwe gw‟Eklezia – Ddala Omukazi atyenga bba, munne bwe baagalana. |
By: Fr. Vincent Bakkabulindi |