Indirimbo ya 414 mu CATHOLIC LUGANDA

414. OBUFUMBO KWAGALANA


Ekidd:
: Ssebo Omwami, oyo ye Mukyala wo gw’olonze mu bangi,
Nnyabo Mukyala, oyo ye Mwami wo gw’olonze mu bangi,
Mukuumaganenga, muyambaganenga, munywezaganenga,
mwagalane nnyo,
Mukuumaganenga, muyambaganenga, munywezaganenga,
Lugaba abakwatireko.
1.1. Olubereberye Omutonzi ng‟atonda omuntu,
Yakisalawo okutonda Adamu ne Eva omubeezi we.
Yabagatta wamu kubanga bombi anti bali omu,
Yabayiwako emikisa bazaale nga bali wamu.
2.2. Olwaleero mugattiddwa mu bufumbo obw‟olubeerera,
Olwaleero musazeewo ne mulondawo okukuumagana
Mugattiddwa walumbe yekka y‟alibaawula
Mugattiddwa kaakati mwembi mufuuse omu.
3.3. Obufumbo, obufumbo ekibunyweza kwagalana,
Kukuumagana kuyambagana nga mussa kimu, nga muba omu
Okussa ekimu ne mugunjula abaana be muzaala
Okuyambagana mu bulungi bwonna ne mu bubi.
4.4. Abafumbo kye mulina kuyambagana na kusabiragana,
Nga musaba Kitaffe Katonda Lugaba abanyweze bulungi mu bufumbo.
Mulyoke muwangule mu bufumbo bwammwe obwo bwe mutandise,
Mukuumagane walumbe yekka y‟alibaawula.
By: Ben Jjuuko



Uri kuririmba: Indirimbo ya 414 mu Catholic luganda