Indirimbo ya 416 mu CATHOLIC LUGANDA
416. OBUFUMBO OBUTUUFU
1. | 1. Obufumbo obutuufu, gwe musingi gw‟eddiini kw‟emera, Obuvubuka obutuufu bwe butegeka amaka amatuufu Ky‟osimba, ky‟osimba ky‟ofuna, Omuvubuka omulungi y‟asobola obufumbo obutuufu. |
Ekidd: | |
: //Kitaffe … yamba abavubuka, Kitaffe ….. nyweza abafumbo.// x2 | |
2. | 2. Obufumbo obulungi, ye ttawaaza y‟abaana b‟olina, Obuvubuka obunywevu, bye bibala by‟amaka amalungi Ky‟osimba, ky‟osimba ky‟ofuna, Omuvubuka omulungi y‟asobola obufumbo obutuufu. |
3. | 3. Abafumbo abatuufu, z‟ezo empagi z‟eddiini z‟erina, Abavubuka abatuufu, abo gye miti emito emirungi Ky‟osimba, ky‟osimba ky‟ofuna, Omuvubuka omulungi y‟asobola ebigambo by‟eddiini. |
4. | 4. Obufumbo obutuufu, kye kitiibwa ky‟eggwanga erisoma, Abavubuka abatuufu, be bannansi b‟enkya abatuufu, Ky‟osimba, ky‟osimba ky‟ofuna, Omuvubuka omulungi y‟asobola okuganja mu nsi ye. |
By: Fr. James Kabuye |