Indirimbo ya 418 mu CATHOLIC LUGANDA
418. TUSAZEEWO MUKAMA
Ekidd: | |
: Tusazeewo Mukama mu maaso go leero, Okufuuka omu, Mukama tetujja kwawukana, Kiriba ki Mukama, aliba ani ate? Alituggya ku Ggwe Mukama, atugasse olwaleero. Ffe mu ssanyu ne mu nnaku, – tetujja kwawukana Mu bulwadde ne mu bulamu – ,, ,, Mu bugagga ne mu bwavu – ,, ,, Tuli bantu ffe tetujja kwawukana – ,, ,, Tusaba Mukama atukuume mu kwagalana, Endagaano yaffe eno ebeere ya mirembe. | |
1. | 1. Twewuunya nnyo entereeza yo Mukama ennungi ey‟ekitalo, Ggwe wasalawo emirembe gyonna tubeere wamu mu bufumbo, Tukkiriza entereeza yo Mukama, ntuufu nnyo ya mikisa, Ky’okakasa, kiba kituufu, Ky‟osalawo, kya mirembe gyonna. Ggwe okakasizza, obufumbo bwaffe, Ky‟okakasa, kya mirembe gyonna N‟endagaano yaffe eno tuyambe ebeere ya mirembe. |
2. | 2. Twewuunya nnyo entereeza yo Mukama ennungi ey‟ekitalo, Ggwe wagatta Adamu n‟Eva babeere wamu mu bufumbo Twaniriza entereeza yo Mukama egatta naffe mu kwagala. Ky’okakasa, kiba kituufu, Ky‟osalawo, kya mirembe gyonna. Ggwe okakasizza, obufumbo bwaffe, Ky‟okakasa, kya mirembe gyonna N‟endagaano yaffe eno tuyambe ebeere ya mirembe. |
3. | 3. Twewuunya nnyo entereeza yo Mukama ennungi ey‟ekitalo, Gw‟otulondera ababeezi baffe, tubeere wamu mu bufumbo. Twaniriza entereeza yo Mukama egatta naffe mu kwagala. Ky’okakasa, kiba kituufu, Ky‟osalawo, kya mirembe gyonna. Ggwe okakasizza, obufumbo bwaffe, Ky‟okakasa, kya mirembe gyonna N‟endagaano yaffe eno tuyambe ebeere ya mirembe. |
4. | 4. Twewuunya nnyo entereeza yo Mukama ennungi ey‟ekitalo, Ggwe otereeza n‟obukuuma bwonna, bunywere wamu obufumbo. Tukkiriza obuyinza bwo Mukama, nyweza nnyo ffe mu mpeta. Kyokakasa, kiba kituufu, Ky‟osalawo, kya mirembe gyonna. Ggwe okakasizza, obufumbo bwaffe, Ky‟okakasa, kya mirembe gyonna N‟endagaano yaffe eno tuyambe ebeere ya mirembe. |
5. | 5. Ayi Mukama eyaleeta embeera y‟obufumbo, Ggwe ogirabirira, Ggwe ogitereeza ne Mwoyo wo. Tukukwasa endagaano yaffe eno, n‟omukwano gwaffe Gwe tutandise, tuyambe tugikuume butiribiri, Tugende naawe mu maka gaffe, ng‟oli naffe, Byonna tunaabisobola. |
By: Fr. James Kabuye |