Indirimbo ya 419 mu CATHOLIC LUGANDA

419. YEZU MARIA YOZEFU


Ekidd:
: Yezu, Maria, Yozefu
Amaka gaffe mugakuumenga.
1.1. Mugakuumenga mu kwagalana;
Tuyambagane buli lunaku,
Tubeere ffembi, n‟omwoyo gumu,
N‟emmeeme emu okutuusa okufa.
2.2. Mugakuumenga mu butukuvu
Ennyumba zaffe zibeere nnungi;
Tuziyizeemu byonna eby‟ensonyi,
N‟abantu ababi n‟abagwenyufu.
3.3. Mugakuumenga mu buwulize
Bassemaka abo babe n‟ekisa;
Nga balagira abakyala baabwe,
Bateese kimu okufuga abaana.
By: W.F.



Uri kuririmba: Indirimbo ya 419 mu Catholic luganda