Indirimbo ya 420 mu CATHOLIC LUGANDA
420. ABAJULIZI
1. | 1. Abakungu bangi, abawanngamye, ku Nnamulondo ez‟ettendo, mu ggulu, Ekidd.: Abatendereza Ddunda Katonda. Mwe muli n‟abaffe bannakayonga, be tutenda leero nga tujaganya. |
Ekidd: | |
: Abatendereza Ddunda Katonda. Tutti: Mwatusookayo Abajulizi bakulu baffe Mu nju ya Kitaffe engazi ebisenge, Mutusabire naffe twejuube, Tubagwe mu buwufu, tubawondere, Tugulumize Nnamugereka Ddunda, Tugulumiza Nnamugereka eyabatuwa Okutwoleka ennamaga engolokofu, Tugulumize Nnamugereka. | |
2. | 2. Mmwe mikwano gya Yezu Omulokozi, baana ba Maria Omusaasizi, Ekidd.: Abatendereza Ddunda Katonda. Mmwe minaala gya Uganda egyasoolooba, ….. Mmwe abazira bannamige ffe be twesiga …… Ekidd.: Abatendereza Ddunda Katonda. |
3. | 3. Ab‟okukkiriza okugumu, abaagala Yezu, mu kuyiwa omusaayi Ekidd.: Abatendereza Ddunda Katonda …….. Leero tweyuna gye muli nga tuwanjaga, mutuwagirenga, tube bavumu: Ekidd.: Abatendereza Ddunda Katonda ……… (Tutti) |
4. | 4. Ffe batusingira abaana n‟abakulu, n‟eggwanga lya Uganda, mulirunngamye: Ekidd.: Abatendereza Ddunda Katonda …….. Eklezia yeetaaye ayitimuke, akunge bonna mu kisibo Ekidd.: Abatendereza Ddunda Katonda. |
By: Sr. Peter |