Indirimbo ya 425 mu CATHOLIC LUGANDA
425. BAJJAJJAFFE MU KUKKIRIZA
1. | (Fr. Joseph Namukangula) Ekidd.: Bajjajjaffe bano mu kukkiriza, Be bazira ennyo ab’oluganda, Kye tubasaba baganda baffe ab’ekitiibwa, Tweyongere mu kukkiriza, eddiini tuginyweze. |
2. | 1. Okukkiriza kwe kwabayamba, Okugoba entalo ez‟amaanyi, Ne musoma eddiini n‟ebayingira, Yezu owammwe n‟abasingira. |
3. | 2. Okukkiriza kwe kwabayamba, Okusoma nnyini obutakoowa, Ne muleka ebingi ebyali biwabya Tusaba tuleme okuterebuka. |
4. | 3. Okukkiriza kwe kwabayamba Ne babavuma olw‟eddiini Kye tusaba naffe ebituyigganya Timuta mmwe nga mutuyambako. |
5. | 4. Mutudde wamu nga muli n‟oyo Mu ggulu ssebo mumutenda, Katonda owammwe oyo ow‟olubeerera Naffe tufuba tulituukayo. |
By: |