Indirimbo ya 426 mu CATHOLIC LUGANDA
426. B’ASIIMA B’AGEZA
Ekidd: | |
: Aboluganda, aboluganda, aboluganda, Bwe mufuna ebizibu ebitali bimu, mugambanga nti: Twesiimye nnyo twagalwa nnyo, Mukama atusiimye Anti b’asiima anti b’asiima b’ageza. Tumanyi kimu nti ekizibu ky’okukkiriza, kibaviiramu kugumiikiriza. Olwo ne mufuuka abantu abakuze, abajjuvu abatalina kibabula, Kibabula, abajjuvu, zaabu atukuziddwa mu kabiga amasamasa. | |
1. | 1. Musajja agumira ebizibu yeesiimye, yeesiimye, Bw‟alimala okugezebwa, alifuna engule y‟obulamu, y‟obulamu engule y‟obulamu. |
2. | 2. Omwavu agumira ebizibu yeesiimye, yeesiimye, Bw‟alimala okugezebwa, alifuna engule y‟obulamu, y‟obulamu engule y‟obulamu. |
3. | 3. Omulwadde agumira endwadde ye yeesiimye, yeesiimye, Bw‟alimala okugezebwa, alifuna engule y‟obulamu, y‟obulamu engule y‟obulamu. |
4. | 4. Saba ky‟osaba tobuusabuusa ojja kufuna, Ddunda wa kisa nnyo Buli alina okukkiriza y‟awangula ensi. Beera mugumu n‟ennaku zo, Ennaku y‟ensi tewoneka, ne Kristu yagiyitamu, nywerera ku ye ojja kuwangula. |
By: Fr. James Kabuye |