Indirimbo ya 427 mu CATHOLIC LUGANDA
427. BEEBO ABAAYOZA ENGOYE
1. | ZAABWE (Fr. Expedito Magembe) 1. Laba laba eri mu ggulu ewala eri Ddala anti k‟owulire Yoanna by‟atunyumiza ebiri eri Laba laba y‟eyo mu ggulu ewala eri Ddala leka abinyumye Yoanna bye yalaba ebiri eri Laba anti k‟owulire, ddala ebisangwa eri Ddala anti k‟owulire Yoanna by’agamba ebiri eri Nze ndabayo abayimba Eyo mu ggulu Era ndabayo abalungi Abanekaaneka abo Balina emirembe Mazima abali eri Era balina ekitiibwa Abaaziwangula abo. x2 Laba amawanga gonna bwe gali eri bwe gali eri, laba amawanga gonna bwe gali eri Buli luse, buli ggwanga, buli muntu buli muntu, laba amawanga gonna bwe gali eri Beebo Abajulizi era abayimba abayimba, beebo Abajulizi era abayimba. |
2. | 2. Bambadde byeru, beesibye ebimyu ebyo, bamuli mu maaso Omukama Bambadde ebyeru banyumye nkugambye, bakute n‟ensaansa ez‟obuwanguzi. Beebo Abaaziwangula entalo mazima ddala obalaba beebo Beebo Abajulizi obalaba, mazima ddala baabo beebo Beebo Bamuyimbira Omukama, mazima ddala baabo beebo Beebo Bali mu ssanyu obalaba, mazima ddala baabo beebo Beebo Bayimiridde obalaba, nga bakutte n‟ensaansa beebo. |
3. | 3. Abazira abanywevu abali mu kitiibwa, nga batudde n‟Akaliga Ebyambalo ebyabwe be baabyoza abo nno mu Musaayi gw‟Akaliga Emitego gya sitaani bonna abo baagibuuka ne babonaabona olw‟Akaliga Ne babonaabona abo wonna ne babakyawa ne babonaabona olw‟Akaliga Baatemaatema abo era ne babasogga nga babalanga ogw‟okusoma Baayita mu bingi nga babonaabona abo ne banywerera ku Katonda Omusaayi gw‟omuwendo guli gwe gwabanaaza, Omusaayi gw‟Akaliga. Beebo Beebo abazira bannamige abo Beebo Laba abali wamu n‟Akaliga Beebo Tibakyalumwa njala baatuuka Beebo Anti bali wamu n‟Akaliga Beebo Ennyonta n‟enjala byaggwa dda Beebo Anti bali wamu n‟Akaliga Beebo Tibakyabonaabona beesiima Beebo Anti bali wamu n‟Akaliga Beebo Okwo okukaaba kwaggwa dda Beebo Anti basanyuka n‟Akaliga. Beewaayo baalwana Abali eri Eeeeeee baalwana Abali eri Ky‟ava abasanyusa Omukama oli N‟abaweera Eeeeeeeeeeeeee baatuuka Oyo n‟abaweera Ky‟ava abatikkira engule zaabwe N‟abaweera Eeeeee eeeeee beesiima Beesiima nnyo Abajulizi mbeegomba Abali eri Eeee eeeeee mbeegomba Abali eri Ffenna tuli mu ddene twesunga Okugenda Eeeeeeeeeee lulikya nno Ne tubatuuka, eyo, eyo, eyo. |
By: |