Indirimbo ya 428 mu CATHOLIC LUGANDA
428. KAROLI LWANGA
Ekidd: | |
: Karoli Lwanga wuuno omulwanyi ow’amaanyi, Tumulina omugabe era omujaasi w’eggye! Katonda yeebazibwe olw’ono gw’atuwadde Akulembere eggye lye ery’abalwanyi ku nsi, Atweyagaza omumegganyi //Tumusiimye ow’ettutumu omuganzi Lwanga.// Tenor Leader: Abatudde mwenna Omulwanyi Lwanga Mbanjulira mukulu waffe Omujaasi wa Yezu, Omuzira nnamige ye oyo Omulwanyi Lwanga, Mukama gw‟atusindikidde Omujaasi wa Yezu, Akulire entabaalo zaffe, Omulwanyi Lwanga, Nnalukalala atameggebwa ngo; Omujaasi wa Yezu, //Ye wuuyo Karoli Lwanga, Omulwanyi Lwanga Ye wuuyo bwe twatabaala! Omujaasi wa Yezu// : KIZITO (Solo): Balubaale bakangawadde, Omulwanyi Lwanga N‟emmandwa zikambuwadde, Omujaasi wa Yezu N‟abafuzi batweweredde, Omulwanyi Lwanga Batulanga obusomi bwaffe, Omujaasi wa Yezu, //Siitye nze Karoli w‟ali! Omulwanyi Lwanga Nnaanywera Karoli w‟ali! Omujaasi wa Yezu.// : | |
By: Joseph Kyagambiddwa |