Indirimbo ya 429 mu CATHOLIC LUGANDA
429. KIZITO OMUTO
1. | (A) Leaders: Chorus: Kizito omuto oyo wange Kizito omusomi Mwana w‟embuga gwe mbiita Kizito omusomi Kizito omwagalwa omuganzi asiimwa Kizito omusomi Nkugumya ennaku gwe nsuuta Kizito omusomi Omwana w‟abakungu atalabwa Kizito omusomi Atunula ng‟amata obuta olw‟enneema Kizito omusomi Nkuuma ekkula lya Katonda zzaabu Kizito omusomi Nkuuma emisana n‟ettumbi Kizito omusomi |
2. | (B) Ekidd.: Bwe tulittibwa naawe ffembi olw’okuba eddiini Nze ndikugumya gy’ogenda tolindeka. Bwe balinjokya ne nfa nze ndijaguza owange, Nze ndiwondera, ne ngwa ggwe eri gy’oligwa. (B x2) |
3. | (C) Kizito onnumya omwoyo, mazima totya, ewa Yezu laba nnyini ffe anti gye tulamaga. (C x2) |
4. | (D) Zannya, zannya, omwana wa Yezu zannya, Zannya, nnyo omulenzi wa Yezu omwana, Jaagaana omulongo w‟olukoba owange, Jaagaana omulongo w‟olukoba ow‟edda. (D x2) |
5. | (E) Eh! Eh! Eh! ……………………..Eh! Eh! Kizito onsagasaganya ka nkusabire, Gy‟ogenda wala ntalo, nywera tuziyabule. (E x2) |
6. | 2. Kizito omugagga enneema Kizito omusomi Ne Nnamasole aweese ggwe Kizito omusomi Mukama w‟eggulu Katonda awa ggwe Kizito omusomi Nnyina Maria atwesiimya Kizito omusomi Okaabiranga ki nga ndi wano? Kizito omusomi Ntunula sitemya nkukuuma owange Kizito omusomi Nkwasa Bikira omuyambi Nnyaffe Kizito omusomi Gwe mmulerera Owemmamba Kizito omusomi |
7. | 3. Kizito mukwano ow‟edda Kizito omusomi Ziriba bbiri ne nngenda Kizito omusomi Nngenda eri Omutonzi nga nze nfa nno Kizito omusomi Nfiirira ssebo eyantonda Kizito omusomi Ffe tulifa lumu ffembi wamu Kizito omusomi Ndayira sirikuleka bw‟omu ggwe Kizito omusomi Liisoddene waggulu gy‟ali eyo Kizito omusomi Tulimulaba n‟oweera. Kizito omusom |
By: Joseph Kyagambiddwa |