Indirimbo ya 430 mu CATHOLIC LUGANDA
430. MATIA NE KAROLI
1. | 1. Matia ne Karoli 2. Ababaka ba Yezu Ne bannammwe abiri, Bwe bajja mu nsi muno, Mmwe abaafiirira eddiini, Mwabasanyukira nnyo, Mwatugulumiza dda. Ne babayigiriza. Mu nsi Uganda. Mu nsi Uganda. |
2. | 3. Nnyini mikisa gyonna, Katonda, yabeegombya Eddiini ey‟amazima; Mmwe yasooka okulonda. Mu nsi Uganda. |
3. | 4. Mmwe abaasookera ddala, Mwaweebwa okusoma Eddiini ya Katonda, Ne mugitutumula. Mu nsi Uganda. |
4. | 5. Mwasenga Yezu Kristu, Ne muba bakakafu; Eddiini gye mwakwata, N‟ebasingira byonna. Mu nsi Uganda. |
5. | 6. Empisa ze mwayisa N‟obutukuvu nnyini, Byategeezanga bonna, Obulungi bw‟eddiini. Mu nsi Uganda. |
6. | 7. Sitaani n‟akalala Ng‟alaba bw‟asengukwa Abangi mu Buganda, Tibaalwa baamugoba. Mu nsi Uganda. |
7. | 8. N‟alyoka abayigganya, Ng‟asiikuula abakulu, Babatiise okuttibwa, Mulekeyo okusoma. Mu nsi Uganda. |
By: W.F. |