Indirimbo ya 431 mu CATHOLIC LUGANDA

431. MBUUZA ABAJULIZI


1.Solo: Mbuuza Abajulizi baffe mmwe abawanguzi, amaanyi gaava wa
agaabawanguza omuliro guli! x2
Ekidd. I Katonda ow’amaanyi Ssabalangira Mukama waffe Yezu
Omuwanguzi, bw’omwekwata oliba munywevu amazima,
Mu Ukaristia mw’ali n’obuyinza bwe. x2
2.Sopr: Anti yakakasa dda Alinjagala nange ndimwagala,
tulijja gy‟ali ne tumubeeramu.
Yezu yagamba ffenna ,, ,,
Yezu alagidde ky‟ekyo ,, ,,
Yezu lye kkubo lyokka ,, ,,
Kkubo ggolokofu nnyo ,, ,,
Yezu akukuuma y‟ono ,, ,,
Yezu omuyinza mw‟ali ,, ,,
Kwata kituufu ky‟ekyo ,, ,,
Mwewe akutaase ku nsi ,, ,,
Tutti: Tuli bagumu nga Yezu ali naffe x2 okuyokebwa, okuttwa twabinyooma n‟obulamu
bw‟ensi obuyita twabuwaayo Mwana wa Katonda Yezu ng‟atuyamba.
Ekidd:
II: Yezu nkusenze nange Lye ssuubi ly‟abalwana amazima,
ge maanyi g‟abalwana Yezu omuwanguzi.
Nzuuno omutiibwa Yezu ,, ,,
Nteesa okukyaza Yezu ,, ,,
Beera mu nnyumba omwange ,, ,,
Ntuuse nkufune Yezu ,, ,,
Nkwewa omulungi Yezu ,, ,,
Gy‟ali walungi Yezu ,, ,,
Yezu ndayidde nange ,, ,,
Yezu okuywera ku Ggwe ,, ,,
W‟oli sigenda kwetya ,, ,,
W‟oli entalo nziyinza ,, ,,
Twala n‟ebyange biibyo ,, ,,
Ndijja nkulabe Yezu ,, ,,
Coda: Ndayidde nja kuwangula
Ensi eno nja kuwangula
Nkutuuke nja kuwangula
Ewaffe nja kuwangula.
By: Fr. James Kabuye



Uri kuririmba: Indirimbo ya 431 mu Catholic luganda