Indirimbo ya 432 mu CATHOLIC LUGANDA
432. MU BE BAGUMU
1. | 1. Timutyanga abo abazigu bali abayigganya mmwe abayigganya mmwe Timutyanga abo abazigu bali abawalana mmwe abawalana mmwe Timutyanga abo abazigu bali abayigganya mmwe abayigganya mmwe. Ekidd.: Mubanga bagumu, mubanga bagumu, mubanga bagumu, Nange bampalana, mubanga bagumu nange bampalana. Mbanyweza nze Mukama wammwe mmwe Ensi eribakaabya, eribadoobya olw’okuba nze, Olutalo nnalulinnyako bangi bangoberera, Nammwe kwe musimbye, munywere nnyo. |
2. | 2. Timutyanga abo abazigu bali mube bagumu Timutyanga abo abazigu abo ababawalana Oluusi batta ne balowooza nti babamalawo Sso muli bangi olw‟amaanyi Katonda g‟abawa Nze nnabasuubiza nti ndibaweera bye munaddamu Bwe baba babatutte mu kkomera eyo tuliba wamu. |
3. | 3. Balibatwala mu kkomera olw‟okubeera nze Kye baakola nze kye balikola nammwe Balibayigga ne mudooba olw‟okubeera nze ,, ,, Balibatwala ne muttibwa olw‟okubeera nze ,, ,, Muliba bajulizi ne mwewaayo olw‟okubeera nze ,, ,, |
4. | 4. Laba mbagamba nti: mbagamba: Bali bwe batta tibatta mwoyo, mube bagumu Laba mbagamba nti: mbagamba: Tibalina buyinza bwa kutta mwoyo timubatya Laba ali omu ati: Katonda y‟alina obuyinza, Mukama yekka mumutye nnyo. |
5. | 5. Alinyiikira n‟atuuka ku nkomerero y‟alirokoka Tufube abange Omukama atugamba Alinyiikira n‟abonaabona nga taddirira y‟alirokoka ,, ,, Alinyiikira alinyiikira n‟atuuka ku nkomerero y‟alirokoka. x2 |
By: Fr. Expedito Magembe |