Indirimbo ya 433 mu CATHOLIC LUGANDA
433. MU GGULU SSANYU JJEREERE
1. | (Ben Jjuuko) Ekidd.: Alleluia mu ggulu, ssanyu jjereere leero, Alleluia Abalenzi abaaka enneema. x2 Alleluia, gye muli ewa Kitaffe mu ggulu Alleluia Abalenzi abaaka enneema. Bass: Oh! Mweyagale Alleluia Mwesiimye Alleluia Mumutende Alleluia Yabaagala Alleluia. x2 |
2. | 1. Tubatenda Abajulizi abazira, Olutalo mwalulwana – Sitaani mwamumegga E Namugongo gye mwattirwa abazira, Eddiini mwagiganza – Yezu n‟abasiima, Yezu n‟abatikkira muli eyo waggulu ewuwe, Engule ez‟ebitiibwa muli eyo ewa Kitaffe. |
3. | 2. Oyo Mukajanga omumbowa omuzibu Naye nno mwamuswaza – bambi mwamuswaza. Ng‟ateekera omuliro mmwe nga musoma busomi Eddiini gye muganza – nga mmwe mwagisiima Abambowa abalala nga basamaalirira Okulaba abazira mmwe – Omukama n‟abayamba. |
4. | 3. Abajulizi abazira mwawangula ebizibu Muli eyo ewa Kitaffe – muli eyo mu kitiibwa Muli eyo mu ddembe nga mumutendereza Ddunda ow‟obuyinza – Omukama ow‟ekitiibwa. Tubadaagira abazira naffe mutukwatireko Olutalo tulumegge – tujje eyo ewa Kitaffe. |
By: |