Indirimbo ya 434 mu CATHOLIC LUGANDA
434. MUJJE BAANA BANGE ABATUKUVU
1. | (Fr. James Kabuye) Ekidd.: Mujje mujje abaana bange, mujje mujje mulamule Mujje mujje mweyanze, mu ssanyu ery’olubeerera. |
2. | 1. Baatuyigganga olw‟eddiini, twaleka byonna okubeera erinnya lyo; Tulifuna ki ffe Yezu, ku lunaku lw‟oluvannyuma? |
3. | 2. Twali mu nvuba ez‟amaanyi, baageza byonna okutubonyaabonya, Twali basibe ffe Yezu, okutuusa n‟okuyokebwa. |
4. | 3. Ayi Yezu, ayi Yezu, ayi Yezu, otuyambe tuzikirira. |
5. | 4. Baatukonjera olw‟eddiini, baanyaga byonna byonna bye twalina, Baatuyiikamu beeyanze, beenyagire ebyaffe eby‟obuwa. |
6. | 5. Twebaza ddala olw‟enneema, twaleka byonna okubeera erinnya lyo, Twali bagumu ffe Yezu, okutuusa n‟okuyokebwa. |
7. | 6. Ayi Yezu, ayi Yezu, ayi Yezu otuyambe tuzikirira. |
By: |