Indirimbo ya 435 mu CATHOLIC LUGANDA
435. MUKULIKE NNYO ABAZIRA
1. | (Fr James Kabuye) Ekidd.: Mukulike nnyo mwasoma, mmwe abeewaayo sso okuttibwa, Muli ne Yezu mwesiimye, mu kwesiima kwonna. Mutikkiddwa mwenna engule, za baluwangula. x2 |
2. | 1. Mukulike abazira, mmwe abaagoba olutalo, Mwanywerera ku Yezu gwe mwasenga mwenna, Mwewaayo nnyo ku olwo, olw‟okuba eddiini, Temwatya kuttibwa, tubeewuunya naffe. |
3. | 2. Mukulike okusoma, eddiini mwaginyweza, Mwagisoma n‟ekiro temwebaka tulo, Mwasoma nnyo eddiini, mwagimanya bw‟eri, Ddunda tumwebaza, yabajjuza amaanyi. |
4. | 3. Mwalina okukkiriza, okunywevu ng‟ejjinja, Mwanywerera ku ddiini, gye mwasoma mwenna, Zaabanyiga ennaku, ne muguma nammwe, Temwatya kuttibwa, nga mujjudde essanyu. |
5. | 4. Mujjukire bannaffe, baganda bammwe bonna, Abakyali ku nsi eno ekyamya abangi leero, Nga musabye Ddunda, alituwa enneema, Ey‟okuba ffenna, mu kwesiima nammwe. |
By: |