Indirimbo ya 436 mu CATHOLIC LUGANDA
436. MULUKULIKE OLUTALO
1. | (Joseph Kyagambiddwa) Mulukulike olutalo mululwanye Mulukulike olutalo mululwanye Mulukulike okuluwangula Mukulike okuluwangula Tubaaniriza abawanguzi mmwe Tubaaniriza abawanguzi Wano we wammwe! Mmwe muyingire abazira! Leka mbateeke engule amatendo Nze ku mitwe gyammwe x2 |
2. | Laba mbawadde ebirungi Buli kimu kyonna Eeeeeeeeee………….. Mutangalijja Mumyansamyansa Nnyini abalungi Nnyini abasajja Nnyini abalenzi Muzaawuse Yee. Kati kati kati mulabe Ensi mugisudde nga Ensi mugisinze nga ne sitaani Ne sitaani omukemi agudde Omukemi agudde mu luwonvu Laba mbawadde ……….. Ggula Omulyango omugazi Ggwe abakulu bayite E …….E ……. x2 |
By: |