Indirimbo ya 437 mu CATHOLIC LUGANDA
437. MUYOGEEYOGE MMWE ABAZIRA
1. | (Ben Jjuuko) Ekidd.: Muyogeeyoge nnyo, muyogeeyoge mmwe abazira Mmwe mukulike nnyo okuwangula. x2 |
2. | 1. Mwewaayo Abajulizi abazira, Tubakulisa olutalo luzibu Mwamuwangula sitaani alimba Ne mutikkirwa engule ey‟obuwanguzi |
3. | 2. Bwe mwegaana sitaani omuzigu Mwewaayo okufiirira amazima Gwe mwasenga Kristu abamala Ka tusabe naffe obuzira. |
4. | 3. E Namugongo mwayokebwa omuliro Ne muguma nga musaba Omutonzi Baabasalaasala obulere Ne muwangula mu bulumi obuzibu. |
5. | 4. Omusaayi gwammwe, Abajulizi abazira Ye nsibuko, eddiini yo etinta Naffe kati ye ddiini gye tusoma Ka tusabe naffe obuzira. |
6. | 5. Baganda baffe Abajulizi abazira Mutusabire naffe obuzira Tumwegaane sitaani omuzigu Tuluwangule olutalo oluzibu. |
By: |