Indirimbo ya 439 mu CATHOLIC LUGANDA
439. NJOZAAYOZA BANNAFFE
1. | (Fr. James Kabuye) Sop: Yee, njozaayoza bannaffe Abajulizi Abaafa baalulinnyako (Bass) Mukulike Namugongo Basajja mwalwana ,, ,, (a) Bajulizi abaafa ,, ,, Basajja mwalwana ,, ,, (b) Basajja mmwe abaafa ,, ,, Sop: Mwalulinnyako olutalo nnamuzisa temwekanga mwali bagumu ng‟ejjinja temwekanga Olutalo lw‟omuliro nnamuzisa mwaluwangula ngeri ki? Sop: Hi ha hi, sso abaana abangi abaabonaabona omuliro. x2 Bass: Baabalanga ki nze mpa ensonga Mwanga ebassisa abasomi? Sop: Baabalanga ki abaffe? Baana baabalanga ki? x2 Bass: Bwe mutalekeeyo kusoma, mwenna ka babayokye e Namugongo Sop: Ssiva ku Yezu nze, sijja kumwegaana ne bw‟atta nneesiima. Tugenze kwesiima. Bass: Bwe mutalekeeyo kusoma, mwenna ka babayokye e Namugongo. Sop: Namugongo olyotya? Ettambiro ekkambwe ozisa abakuzzeeko? Bass: Mwanga nnaakugamba ki ggwe nno! Ggwe atta abasomi n‟obookya! Sop: Gy‟ali gy‟ali asala omusango; Mwanga olimudda wa ggwe ate? Bass: Olikala ng‟omuddo ogutannakuulwa, obuyinza bwo obwonoonye Sop: Munywere, munywere abaana abawanguzi b‟entalo. Bass: Munywere Sop: Munywere Munywere Munywere abaana abawanguzi ntalo anaabatiisa anaava wa, munywere. Bass: Munywere x2 Munywere Sop: Munywere abaana abavubuka Katonda ageza. Ageza x4 (a) Mukulike omukka – mukulike obulumi Katonda ageza (b) Mukulike ebbabe – mukulike effumu Sop: Kati nno, kaakati mutudde ntende Bass: Mbatenda Mu ssanyu mutudde ntende – ewaffe. (b) Kaakati muli mu ddembe – mbatenda Ennaku ziwedde amangu – kafuuwe. (c) Abaafa muli mu ddembe – mbatenda Entalo ziwedde ez‟ensi – ezammwe. Sop: Tusaba kimu bannaffe Bass: – Abeewaayo Mutusabire tweveemu – bulamba Eddiini tuginyweze ffenna – n‟amaanyi. Tutti: Tugyagale okusinga ebirala bye tulina ffe, N‟obulamu bwaffe, n‟ekitiibwa kyaffe bye tweresa mu nsi muno Byonna mu ggulu tubifuna mu bujjuvu, ate bya lubeerera. |
By: |