Indirimbo ya 440 mu CATHOLIC LUGANDA
440. NOA
Ekidd: | |
: Noa ffe tukutenda olw’obuzira bwo, Noa, Bakambwe abambowa Wabeeranga, Noa, bwe baakufumita tiwesasa, Wafa nga Yezu mu buwulize; //Tuyambe tunywerere ku Yezu Tutuuke ewa Kitaffe mu ggulu// x2 Tutuuke ewa Kitaffe mu ggulu. | |
1. | 1. Wazaalibwa Nkazibuku eyo mu Busujju. Bakadde bo: Musaazi ne Mmeeme baakugunjula Wayigirayo n‟ogw‟okubumba waguva buto Gwe gwakusenza ewa Mukwenda mu Kirumba. |
2. | 2. Wasomera Kiyinda kumpi ne Mityana, Wayolesa amagezi n‟obuvumu obutagambika Wagumalako ogw‟obulonde n‟okakasibwa. Wakulira ewa Mukwenda e Mityana. |
3. | 3. Omulimo gwo, mubumbi w‟embuga nnakinku Wagukoza magezi n‟ossaako n‟obugunjufu Wali muwazi ow‟amaliba omuwulize Mulimo gwo nga bagusiima mu Kirumba. |
4. | 4. Wasomesa ogw‟obulonde mu Kiyinda Kye mwakola, Matia ne Luka kyatutumbula Ne wasituka abasomi bangi mu Mityana. Nga basoma emisana n‟ekiro mu Kirumba. |
5. | 5. Wasangibwa ewa Luka wano e Kiyinda Abambowa lwe bajja n‟ovaayo n‟obuzira bwo Ng‟oli mugumu nga bakubuuza ggwe wabaddamu: “Ffe tuutuno, tetutya n‟akamu buli ekijja”. |
6. | 6. Watwoleka bw‟olumirwa ennyo ebikukwasibwa. Mirimo gyo wagikoza buvumu ko n‟obwesigwa. Kye tukusaba emirimo gyaffe gye tusiibamu Tuyambe tugikolere Kristu oyo Katonda. |
By: Fr. James Kabuye |