Indirimbo ya 441 mu CATHOLIC LUGANDA

441. OLWATUUKA


1.1. Olwatuuka, ku mirembe gya Mwanga nze mbabulire,
Ekyaliwo e Buganda ayi abasomi bannange ekyaliwo e Buganda,
Kye ky‟Abajulizi abaafa ekyaliwo e Buganda.
Ekidd. Waggulu ewala abaana, Katonda ab’ettendo be yalinnyisa
Leero abakulu mu ggulu ddala ku lwa Yezu bo omusaayi
Mu nsi eno baagubundula, tubakulise.
Nze ngulumiza ntenda, abazira abaana abo Abafirika,
Era abalungi mu ngeri, kati ku lw’enneema ey’obuzira
N’amaanyi baabali wali, be Bajulizi.
Alleluia, alleluia abalenzi abaaka enneema x2
Abatuukirivu.
2.2. Ng‟eddiini ezze, eyaleetebwa Yezu nno Omulokozi,
Ekyaliwo e Buganda, mu basomi b‟eddiini ekyaliwo e Buganda,
Kye ky‟Abajulizi abangi abaaliwo ku Mwanga.
3.3. Bwe batuuka, abatume b‟eddiini mu Bufirika
Ekyaliwo e Buganda, ku basomi b‟eddiini ekyaliwo e Buganda
Kye ky‟Abajulizi abattwa, ewa Kabaka Mwanga.
4.4. Abaanyweza, amateeka ga Yezu mu bulunngamu,
Ekyabagwira kiikyo, abakwasi b‟eddiini ekyabagwira kiikyo,
Kye ky‟okubatta bonna abo, ekyabagwira kiikyo.
By: Joseph Kyagambiddwa



Uri kuririmba: Indirimbo ya 441 mu Catholic luganda