Indirimbo ya 444 mu CATHOLIC LUGANDA
444. TWEWUUNYA OBUZIRA BWO
1. | (Fr. James Kabuye) Ekidd.: Twewuunya obuzira bwo ggwe ataatya kuyokebwa, Omuto ddala weewaayo okubeera Yezu, Ayi Kizito omwesiimi Luwangula, Ggwe tufunire eri Yezu Omukama Katonda, Enneema ey’obuwanguzi. x2 |
2. | 1. Mu mirembe egy‟edda, mu nsi ya Uganda Nga tetumanyi na ddiini, Yezu n’atuyamba, n‟atuma abasaale, Bagobye e Buganda Ne batandika okusomesa. |
3. | 2. Ku mirembe Emyanga, nga kiri mulaala, Ne batandika olwo eddiini Bangi bagikutte, basoma obutezza, Ne Mapeera ku olwo, Ng‟abayamba okweyatulira. |
4. | 3. Ggwe Kizito omwana, okuva obuto bwo, Weeragirawo ggwe bw‟oli Weewala ebikyamu, n‟okola ebirungi N‟ozikyawa emmandwa, Okuva obuto oli muzira. |
5. | 4. Wasoma kironde, ng‟otegeera bingi Amagezi go nga mangi Yezu n‟akuganza, n‟akuwa ggwe enneema, N‟osobola bw‟otyo, Okuva ku byokulagulwa. 5. Nga bakutte bangi abasomi enkwata, Wasigalawo ng‟onywedde, Bangi baakugamba: weewale abajeemu, By‟osoma bisuule, Oleme kufa obumbula. |
6. | 6. Nga muli bakwate wasaba Karoli, Kubatizibwa mu ddiini, Yezu n‟akufuula omwana gwe yalonda, Ow‟olulyo olulonde, Okuva olwo n‟oba Kizito. |
7. | 7. Omuzadde wo oyo ng‟alira amasajja, Yakukangamu ggwe omwana, Naawe n‟omugamba, ssebo nze nkugaanye, Nja kufa ku lwange, Ffe tugenda waffe mu ggulu. |
8. | 8. Ku kikoomi erudda, ng‟otunula bw‟oti Ne bakuttisa ggwe ekiggo, Bw‟otyo n‟osirikka, olw‟oyo gwe waganza, N‟osomoka bambi Mu ggulu okuba ne Yezu wo. |
By: |