Indirimbo ya 445 mu CATHOLIC LUGANDA
445. YE MMWE EKITIIBWA
1. | KYA UGANDA (Fr. James Kabuye) Ekidd.: Ye mmwe kitiibwa kya Uganda eky’emirembe, Mu nsi yonna ttaala za Yezu ezitemagana, Musingi gw’eddiini entuufu Mmwe Abajulizi abasaale, Mutusabire mutuyambe tubeesiga. |
2. | 1. Ebimuli by‟eddiini byayanya mu nsi yaffe, Katonda ow‟obuyinza bwe yalonda abazira nnantagobwa, Yabawa gali ate, ne bagumira amasamba n‟okunyoomwa Baabasalako emikono, abalala baabookya nga balaba. |
3. | 2. Ebimuli bya Roza byayanya mu nsi yaffe, Katonda ow‟obuyinza bwe yanyweza abazira nnantawetwa, Yabawa gali ate, ne basobola okunywera ne Katonda, Baabatiisa nnyo abalabe, abasomi beewaayo nga balaba. |
4. | 3. Ebimuli eby‟ettendo byayanya mu nsi yaffe, Katonda be yalonda abataasa, abakuuma n‟abagobya, Omusaayi ogwayiika ne gumerusa emitunsi egibala ennyo Kyababuukako okulaba nga abasomi baaze nnyo okukamala. |
5. | 4. Ebimuli bya Yezu byakula mu nsi yaffe, Katonda tumuganze be yalonda, okumanya bw‟alokola, Yatuma Mapeera ajje, eyatusomesa okubeera aba Katonda. N‟ayigiriza nga tatya, abasomi n‟abagumya okukamala. |
By: |