Indirimbo ya 446 mu CATHOLIC LUGANDA
446. YOZEFU MUKASA
1. | Soprano Ekidd.: Yozefu Mukasa eyasooka Ng’afiira eddiini ye, – Mulabe Mukasa agasa (Yozefu) abeera mu ggulu. Oh! Kati yeesiimye yesanyukira! – Mulabe Mukasa agasa (Yozefu) abeera mu ggulu Yezu gw’aganza era bali wamu! – Mulabe Mukasa agasa. Abakulembera: |
2. | 1. Kitawe olwamutemako ensingo eddaamu n‟eyiwa Mukasa n‟agenda waggulu ewala. Mulabe Mukasa agasa/// (Ekidd.:) Abakulembera: |
3. | 2. Balikuddembe emussisa eddiini sirigireka, Ndayira ssegomba kintu kirala. Mulabe Mukasa agasa/// (Ekidd.:) Abakulembera: |
4. | 3. Mukama omuzirakisa ambeere; ekkubo lye ndimu, Mukasa ly‟asambye nze ngoberera. Mulabe Mukasa agasa/// (Ekidd.:) |
By: Joseph Kyagambiddwa |