Indirimbo ya 447 mu CATHOLIC LUGANDA
447. ABEEREWO ALUNDE ABANTU BO
1. | (Fr. James Kabuye ) (Tusabire Omusumba waffe….) Ekidd.: Abeerewo alunde abantu bo, Mu buyinza bwo ayi Mukama Abeerewo alunde abantu bo, Mu kitiibwa ky’erinnya lyo. |
2. | 1. Wayogera dda ng‟olabise n‟ogamba Abatuukirivu bo nti: Owobuyinza mmutikkidde engule, omulondemu mmuggye mu ggwanga. |
3. | 2. Nzudde Daudi omuweereza wange, Mmusiize Omuzigo gwange Omutukuvu. |
4. | 3. Ekiseke kyange kimubeerako bulijjo N‟omukono gwange gumugumyenga. |
5. | 4. Omulabe tajja kumukwenyakwenya, N‟omubi oyo taamunyigirize. |
6. | 5. Obwesigwa bwange n‟omukwano gwange biri naye, Era mu linnya lyange obuyinza bwe buliyitimuka. |
7. | 6. Emirembe n‟emirembe ndimukuumira nze omukwano gwange, N‟endagaano yange teribaako gy‟edda. |
By: |