Indirimbo ya 448 mu CATHOLIC LUGANDA
448. AWANGAALE PAAPA WAFFE
1. | (Fr. Expedito Magembe) 1. Ye lwe lwazi – Omukama Kwe yazimba – Eklezia atutwala Ye lwe lwazi – Paapa Ddala ddala – Eklezia Kw‟enyweredde n‟abeera omu n‟Omusumba omu. |
2. | 2. Kristu – Ye Musumba Paapa – Ye musigire akumaakuma obuliga. |
3. | 3. Mukama kuuma – Paapa waffe Kuuma – Paapa waffe Awangaale ng‟alamula – Eklezia abeere omu. x2 |
4. | 4. Paapa – Mukuume Paapa – Muyambe Paapa – Munyweze Paapa waffe. Omukuume, omuyambe Lugaba Ddunda Nnantalemwa. Omukuume, omuyambe Paapa waffe omukuume Ddala omukuume, omuyambe Paapa waffe. |
By: |