Indirimbo ya 450 mu CATHOLIC LUGANDA

450. GGWE MUSUMBA

Ekidd:
:Tukwanirizza, ggwe Musumba,
Atalundira mpeera gw’atuwadde, ggwe Musumba
Tulambike otutwale ew’Omusumba,
Ssabasumba Yezu,
Tube kimu ffenna, tube kimu ffenna.
1.1. Ggwe musika anti ow‟Abatume, Ggwe mugabe Ddunda, gw‟agabye
Tukwanirizza, tukukkirizza, ggwe mugabe waffe.
Tukwanirizza, tukukkirizza, Ddunda akukuumenga.
Ggwe kabonero akalabika, nti Kristu Omusumba, ali naffe.
2.2. Ffe mubiri ogwa Kristu, ggwe mugabe ayunga b‟oyise,
Tukwanirizza, tukukkirizza, Ssebo mutwe gwaffe,
Tukwanirizza, tukukkirizza, Ddunda akukuumenga.
Ggwe kabonero akalabika, nti Kristu Omusumba, ali naffe.
3.3. Lunda endiga ggwe n‟amagezi. Ggwe mugabe yamba eziwabye.
Tukwanirizza, tukukkirizza, Ddunda akunywezenga,
Tukwanirizza, tukukkirizza, Ddunda akuwe byonna,
Ggwe kabonero akalabika, nti Kristu Omusumba, ali naffe.
By: Fr. James Kabuye

Uri kuririmba: Indirimbo ya 450 mu Catholic luganda