Indirimbo ya 453 mu CATHOLIC LUGANDA
453. YE WUUYO OMUSAALE WA YEZU
1. | (Fr. James Kabuye) Ekidd.: Ye wuuyo omusaale wa Yezu gw’atuwadde. Ye wuuyo Katonda gwe yalonda n’amuteekawo, Afuge, alamule Eklezia we, abune wonna, Tweyanze ssanyu lya nsusso. |
2. | 1. Katonda yeebale, Atuwadde anti olwaleero luno, Musumba omwagalwa. Ffenna twejage, tujaguze, Twebaze Ddunda wamma. Wuuno gw‟asiimye okufuga wamma, Gy‟ekoma Eklezia. |
3. | 3. Ye ggwe eyalayira, Ng‟omuwa omuggo azimbe Essaza, Ng‟alunda abantu bo Endagaano yo temenyeka, Gy‟okuba enywera ddala Yamba gw‟osiimye, Kitaffe ono, B‟afuga tunywere ffe. |
By: |