Indirimbo ya 454 mu CATHOLIC LUGANDA

454. BAKWANIRIZE


Ekidd:
: Bakwanirize, Abatuukirivu ab’eyo mu ggulu bakwanirize,
Kristu eyakuyise, akutuuse gy’ali.
1.1. Abatuukirivu b‟Omukama ne Bamalayika, bakusisinkane,
Bakutwale gy‟atuula Oyo ali waggulu ddala.
2.2. Oyo eyakuyise, Kristu Omusaasizi, akusisinkane,
Bamalayika wamma bakutwale eri Yibraimu jjajjaawo.
3.3. Muwe ekiwummulo ekitaggwaawo ayi Mukama, ng‟omusisinkanye,
N‟ekitangaala eky‟olubeerera kimwakirenga bulijjo.
By: Fr. James Kabuye



Uri kuririmba: Indirimbo ya 454 mu Catholic luganda