Indirimbo ya 455 mu CATHOLIC LUGANDA
455. BALINA OMUKISA BANO
Ekidd: | |
: Balina omukisa bano ew’Omukama, Omulokozi w’ensi alibasaasira, Balina omukisa bano ew’Omukama. Ezzadde ly’abanoonya Mukama Katonda. | |
1. | 1. Ensi ya Mukama na byonna ebyo ebigijjuza, Enkulungo y‟ensi n‟abo bonna abagisulamu. |
2. | 2. Anti yagizimba ku mayanja, n‟aginyweza ng‟agiteekamu emigga, Omutonzi w‟ensi, mmwebaza mmutenda. |
3. | 3. Ani alyambuka ku lusozi lw‟Omukama, n‟ayimirira mu kifo kye Ekitukuvu? Ow‟emikono omutali musango, ow‟omutima omutukuvu. |
4. | 4. Atateeka mwoyo ku ebyo abitagasa, n‟atakwenyakwenya munne ng‟alayira. Ow‟emikono omutali musango, ow‟omutima omutukuvu. |
5. | 5. Ono alifuna omukisa ew‟Omukama, n‟empeera ewa Katonda eyamulokola. Lino lye zzadde ly‟abanoonya, amaaso ga Katonda oyo owa Yakobo. |
6. | 6. Emiryango nammwe musitule obubuno, n‟enzigi mwenna ez‟edda mwesitule, Kabaka nnyini ow‟ekitiibwa. ayingire kati. |
7. | 7. Kabaka sso ow‟ekitiibwa y‟ani oyo? Omukama Omuzira omuyinza, omuzira kayingo mu ntalo. |
By: Fr. James Kabuye |