Indirimbo ya 456 mu CATHOLIC LUGANDA

456. BALINA OMUKISA BANO


Ekidd:
: Balina omukisa bano ew’Omukama,
Omulokozi w’ensi alibasaasira,
Balina omukisa bano ew’Omukama.
Ezzadde ly’abanoonya Mukama Katonda.
1.1. Ensi ya Mukama na byonna ebyo ebigijjuza,
Enkulungo y‟ensi n‟abo bonna abagisulamu.
2.2. Anti yagizimba ku mayanja, n‟aginyweza ng‟agiteekamu emigga,
Omutonzi w‟ensi, mmwebaza mmutenda.
3.3. Ani alyambuka ku lusozi lw‟Omukama, n‟ayimirira mu kifo kye Ekitukuvu?
Ow‟emikono omutali musango, ow‟omutima omutukuvu.
4.4. Atateeka mwoyo ku ebyo abitagasa, n‟atakwenyakwenya munne ng‟alayira.
Ow‟emikono omutali musango, ow‟omutima omutukuvu.
5.5. Ono alifuna omukisa ew‟Omukama, n‟empeera ewa Katonda eyamulokola.
Lino lye zzadde ly‟abanoonya, amaaso ga Katonda oyo owa Yakobo.
6.6. Emiryango nammwe musitule obubuno, n‟enzigi mwenna ez‟edda mwesitule,
Kabaka nnyini ow‟ekitiibwa. ayingire kati.
7.7. Kabaka sso ow‟ekitiibwa y‟ani oyo? Omukama
Omuzira omuyinza, omuzira kayingo mu ntalo.
By: Fr. James Kabuye



Uri kuririmba: Indirimbo ya 456 mu Catholic luganda