Indirimbo ya 457 mu CATHOLIC LUGANDA
457. BAMALAYIKA OBUTABALA
1. | BAKUTWALE (Fr. James Kabuye) 1. Bamalayika obutabala naawe, Bakutwale gy‟ali mu ggulu wamma. Ekidd.: Tukukwasa omwoyo gw’omugenzi ono Ggwe Kristu eyamuyise. |
2. | 2. Eggulu lijaguze ggwe lw‟ogenze Nga likulisa ggwe omuzira wamma. |
3. | 3. Ng‟olamula omugenzi ng‟atuuse Ggwe musaasizi atasingika gy‟azze. |
4. | 4. N‟Abatukuvu bannaggulu abangi, Bayanirize ono mu ggulu wamma. |
5. | 5. Yeruzalemu omugenzi gy‟ogenda, Kye kibuga gy‟oba mu ddembe wamma. |
6. | 6. Ggwe omuyinza wa buli kimu Ddunda, Zuukiza munnaffe ono lw‟azze ewuwo. |
7. | 7. Ggwe eyazuukiza Lazaro oyo omwavu, Tukukwasa n‟ono gw‟oyise n‟ajja. |
By: |