Indirimbo ya 458 mu CATHOLIC LUGANDA
458. BEESIIMYE ABO ABAFIIRA
1. | MU MUKAMA (Fr. Expedito Magembe) Ekidd.: Ba mukisa abafiira mu Mukama, Ba mukisa abafiira mu Mukama. Beesiimye, beesiimye, beesiimye abo: Nga beesiimye, nga beesiimye, nga beesiimye abafiira mu Mukama. |
2. | 1. Baali beesigwa ku nsi ne bamuweereza oyo Katonda, Kati bali wamu n‟Omukama mu kiwummulo eky‟olubeerera. |
3. | 2. Mwoyo agamba: okuva kati okukola kuwedde, Mwoyo agamba: okutegana kuwedde. Ebirungi bibagoberera, bye baakola bye bagenze nabyo. |
4. | 3. Bawummudde, bawummudde, bawummudde mu Mukama; Bawummudde mu ddembe. |
By: |