Indirimbo ya 459 mu CATHOLIC LUGANDA
459. BWE TUFA
Ekidd: | |
: Bwe tufa, bwe tufa, byonna tubireka; Bwe tufa, tugenda ffekka ffekka. | |
1. | 1. Mujje abantu, mujje mwenna Mujje mulabe mu ntaana, Byonna bye mugoberera Olumbe bwe lubikola. |
2. | 2. Ng‟omubbi bw‟ajja ekiro Bonna nga beebase otulo, N‟olumbe bwe lututwala Mu budde bwe tutamanya. |
3. | 5. Byonna by‟okunngaanya ku nsi, Mugagga, biriba bya ki? Ku ebyo bye wesiimamu Tojja kusigaza kantu. |
By: W.F. |