Indirimbo ya 460 mu CATHOLIC LUGANDA
460. EGGYE LYA BAMALAYIKA
1. | (Fr. James Kabuye) Ekidd.: Eggye lya Bamalayika likwaniriza sso, Ofune ne Lazaro omwavu, ekiwummulo eky’emirembe. |
2. | 1. Omukama mmwagala kubanga yawuliriza Eddoboozi ly‟okuwanjaga kwange, Kubanga yantegera okutu nze, ku lunaku lwe nnamukoowoola. |
3. | 2. Emiguwa gya walumbe gy‟anzingirira, Emitego egy‟emagombe gintuukirira, Ne ngwa mu kweraliikirira ne mu nnaku. |
4. | 3. Nnakoowoola bukubirire erinnya ly‟Omukama, Lokola obulamu bwange, ayi Mukama nze nkwesiga. |
5. | 4. Omukama wa kisa, mutuufu Katonda waffe ng‟asaasira. Omukama y‟akuuma abatene, nnali mu nnaku Ye n‟andokola. |
6. | 5. Mwoyo gwange weddire mu nteeko, Kubanga Omukama yakukolera bulungi bulala. |
7. | 6. Kuba anti Ye yawonya omwoyo gwange mu kufa okutiisa, Yawonya amaaso gange mu maziga, n‟ebigere byange kugwa mu mutego. |
8. | 7. Nze nditambulira mu maaso g‟Omukama Nditenda Omukama, mu nsi y‟abalamu eyo. |
By: |