Indirimbo ya 461 mu CATHOLIC LUGANDA
461. EMYOYO GY’ABATWALIBWA
1. | 1. Emyoyo gy‟abatwalibwa, 2. Kimu kyokka gisuubira, Mu Purgatori, Okulaba Yezu, Ginyolwa nga gisasula N’okwesiima n’okubbira Ebbanja ery‟ebibi. Mu ssanyu erijjuvu. |
2. | 3. Ensinda gye gisindamu, Ku nsi tesangika; N‟enkaaba gye gikaabamu Nayo tegambika. |
3. | 5. Katonda yamba abaana bo, Ababonaabona; Era tuma ababaka bo Babawonye bonna. |
By: M.H. |