Indirimbo ya 463 mu CATHOLIC LUGANDA
463. KRISTU ONZIJUKIRANGA
Ekidd: | |
: Kristu onzijukiranga, ng’otuuse, mu bwakabaka bwo onzijukiranga Kristu onzijukiranga, ng’otuuse, mu bwakabaka bwo nzijukiranga. | |
1. | 1. Omukama annunda nze, mpaawo kye njula nze, Yantuusa mu malundiro amalungi gonna ne ngalamira. |
2. | 2. Yantwala eri amazzi amangi, gye mba mpummulira nga nnywa nze, Omwoyo gwange n‟aguzzaamu, endasi mmutenda. |
3. | 3. Ku olwo yampisa mu bukubo, obugolokofu obutuusa amangu, Olw‟okubeera erinnya lye ekkulu eryo, eritukuvu. |
4. | 4. Ne bwe ntambula mu kiwonvu eky‟enzikiza, ekikutte be ppo, Sitya nze bubenje bwonna, kubanga Ggwe oli nange. |
5. | 5. Oluga wamu n‟omuggo gwo, nange binkubagiza, Ontegekera olujjuliro nga batunula, abalabe bange. |
6. | 6. Ogwange omutwe ogusiiga omuzigo, ekikompe kyange ne kibooga, Ekisa kyo n‟omukwano bingoberere ennaku zonna, ez‟obulamu bwange. |
7. | 7. Nnaasulanga mu nju eno ey‟Omukama, emirembe gyonna nze, Nnaasulanga mu nju eno bulijjo, emirembe gyonna. |
By: Fr. James Kabuye |