Indirimbo ya 464 mu CATHOLIC LUGANDA
464. LUGENDO LUNENE
Ekidd: | |
: Lugendo lunene Mukama y’amanyi, Obulamu obw’oku nsi lugendo lwa kufa. Lugendo luzibu, wamma lugendo, Lugendo lunene, si lwangu. | |
1. | 1. Bwotomutuuka Katonda wo, olugendo terukoma, Bw‟omutuuka Katonda wo, olwo olugendo nga lukoma, Obulamu bw‟olina lugendo lwa kufa, bw‟otuuka gy‟olaga nga lukoma Anti oluzaalibwa ggwe n‟olutandika, emyaka gy‟omala gibeera gya kufa Mu buno obw‟okufa ggwe mw‟oyita, n‟ogenda gy‟olaga mu bw‟olubeerera. |
2. | 2. Okufa kulungi kw‟abo abamwagala Omukama, kulinga omulyango mwe bayita Okusisinkana Kristu, Kristu abatuusa eri Kitaawe. x2 |
3. | 3. Mukama gw‟omanyi ….. bw‟oba omusanze, Ng‟okyali ku nsi ………… n‟eri bwe guliba. Obulamu bw‟olina ……… nabwo yabukuwa, Era akulambika…………… ggwe nywera beera mwesige. Ebirungi by‟olina ……….. ku nsi eno bikoma, Kyokka ebiri eri …………. byo tebikoma. Bw‟oba ng‟onyiikira ….. era nga weegayirira, Olibeera wuwe …………… walumbe n‟akoma. Mukama atalemwa …….. era omuyinza, Bw‟ofa ng‟omwagala …. oba omutuuse. 4. Yee bwe tulituuka tulisangayo Mukama n‟atuweera. Yee bwe tulituuka tulisanyuka nnyo, kubanga tuliba babe. Yee ffe abaamusenga, tuliba babe, Mukama n‟atuweera. Yee alitugamba, mmwe abannywererako, mujje eno ne mbaweera, Yee alitusiima nti mwalumwa nnyo, kyokka ne muguma nnyo, Mmwe abantu bange, njagala mbawe ku byange eby‟obusika. 5. Bw‟olimalirira (mu mutima) ne weewaayo olibeera eri abalungi gye babeera, emirembe gyonna. Bw‟olimalirira (mu mutima) ne weevaamu olibeera eri abalungi gye babeera. Emirembe n‟emirembe. |
By: Fr. Expedito Magembe |