Indirimbo ya 465 mu CATHOLIC LUGANDA
465. MU KRISTU TULI BALAMU
1. | (Fr. Expedito Magembe) Kristu bwe bulamu bwaffe – Kristu kwe kuzuukira kw‟abafu Kristu bwe bulamu bwaffe – Kristu mu ye tuli balamu emirembe. |
2. | 1. Tuli ba kiseera ku nsi tuggwaawo – Tuli nga omuddo ogw‟oku ttale oguliwo kati, enkya ne guggwaawo. |
3. | 2. Tuli ba kiseera era batambuze Tugenda wa Kitaffe gy‟atulinze ensi eno – Tugivaako. |
4. | 3. Yatununula era yatuwonya nnyo Yatuwonya walumbe n‟atuwa Mwoyo nga gwe musingo nno ogw‟obulamu. Essuubi lyaffe liri mu ye – Liri mu ye Amaanyi gaffe gatuli mu oyo eyatununula – Tumwekola nnyo. Kristu Tumwekola nnyo Kristu Tumwesiga nnyo Ye bwe bulamu, kwe kuzuukira buli amukkiriza: Ne bw‟alifa aliba mulamu Ne bw‟alifa aliba mulamu. Ne bw‟alifa aliba mulamu. |
By: |