Indirimbo ya 467 mu CATHOLIC LUGANDA
467. MUTUSAASIRE
Ekidd: | |
:Mutusaasire, mutusaasire, Ennaku zaffe nga zituyinze. Mutusaasire, mutusaasire, Mmwe mikwano gyaffe, tubeyunye. | |
1. | 1. Abakristu ab‟oku nsi, 2. Omutango ogusinga, Mujjukire ffe bannammwe, Bwe butalaba Katonda Tulumwa mu Purgatori Tumumanyi nga wa kisa, Okubeera ebibi byaffe. Sso talema kututanza. |
2. | 3. Era kye tulaba muno, 4. Obanga mutulowooza, Ekitusasuza ebbanja, Mmwe mwenna baganda baffe Gwe muliro ogutwokya ennyo Mutusabire mu Missa, Awatali kuwummula. Omukama atuwonye. |
3. | 5. Abekisa mutuyambe Nga muwaayo essaala zammwe; Tukaaba mutusabire, Mutuwonye ennaku zaffe. |
By: W.F. |