Indirimbo ya 468 mu CATHOLIC LUGANDA
468. NNALWANA MASAJJA
1. | (Fr. Expedito Magembe) Ekidd.: Nnalwana masajja embiro nzimalirizza, Okukkiriza okwo ddala nkukuumye nnyo, Nnoonya ngule ey’amayisa amalungi, Omulamuzi omulungi ampe empeera. |
2. | 1. Obwokusomoka butuuse, nnalwana masajja nze, Embiro nzimalirizza. |
3. | 2. Okuyisa obulungi, ye ngule ekyambulako, Alyoke ampeere oyo empeera, alyoke ampeere oyo empeera. |
4. | 3. Na bonna abeegomba, abamulinda Omukama, Ddala alibaweera oyo empeera, ddala alibaweera oyo empeera. |
5. | 4. Ye yannyamba Omukama, ye yampaniriza nze, N‟ampa amaanyi ne mpangula, n‟ampa amaanyi ne mpangula. |
6. | 5. Atenderezebwe Omukama, aweebwe ekitiibwa, Aweebwe ekitiibwa emirembe n‟emirembe Aweebwe ekitiibwa emirembe n‟emirembe. |
By: |