Indirimbo ya 469 mu CATHOLIC LUGANDA
469. NZIKIRIZA NGA NDIRABA
1. | (Fr. Expedito Magembe) Ekidd.: Nzikiriza, nzikiriza nga ndiraba ebirungi by’Omukama Mu nsi eyo, mu nsi eyo ey’obulamu. |
2. | 1. Nsaba kimu, nsaba kimu, nnoonya kino okusula mu nnyumba ey‟Omukama obulamu bwonna. |
3. | 2. Nsaba kimu, nsaba kimu, nnoonya kino mpulire nze Omukama bw‟awooma, mbeere mu maaso ge. |
4. | 3. Nsaba kimu, nsaba kimu, nnoonya kino Omukama annyambe ansaasire, mbeere ddala wuwe. |
5. | 4. Nnaatya ki? Ng‟Omukama bwe bulokofu, kye kigo ekinkuuma bwe bulamu bwange. |
By: |