Indirimbo ya 471 mu CATHOLIC LUGANDA
471. OBUYINZA BWA MUKAMA
1. | (Fr. Expedito Magembe) Obuyinza bwa Mukama bwa kitalo, obuyinza bwa Mukama bwa nsusso, Obuyinza bwa Mukama mu ffe, bwa kitalo nnyo. Bass: Tuli bibya bya bbumba ebyatika, mwe tutwalira ekkula ly‟Obutume Sop: Kkula ly‟Obutume litwalirwa mu bibya, kubanga tuli bibya bya bbumba ebyatika. Bass: Tuli bibya bya bbumba ebyatika, mwe tutwalira ekkula ly‟Obutume Sop: Ekkula ly‟Obutume litwalirwa mu bibya, kw‟olabira obuyinza bwa Mukama Bass: Obuyinza bwa Mukama bwa kitalo, obuyinza bwa Mukama bwa nsusso. x5 Sop: 1 Ennaku zitudaaza buli wantu, naye tezitugonza. 2. Tubulwa gye tuva ne gye tulaga, naye tetwabulirwa 3. Tufuna oluusi ebituyuuya, naye tebitumegga. 4. Tufaanana okukenena ne tuggwaawo. 5. Ennaku ezitukaabya ez‟oku nsi, nazo ziriggwaawo. Tuli bibya bya bbumba ebyatika, mwe tutwalira ekkula ly‟Obutume. Bass: Buli wonna we tubeera, okufa okwa Yezu kuli mu ffe Buli wonna we tubeera okufa okwa Yezu kuli mu ffe. x3 Sop: Kuli mu ffe, obulamu bwa Yezu bulyoke bweyoleke mu mibiri gyaffe, era ebitundu bye. Tumanyi bulungi ffe, kino ekisulo kyaffe eky‟oku nsi bwe kyabizibwa, Waliddawo ekyo eky‟olubeerera, a a a a. Tumanyi bulungi nnyo, buno obulamu bwaffe obw‟oku nsi bwe buggwaawo, Tulifunayo obwo obw‟olubeerera, a a a a. Tumanyi bulungi era, ng‟eyazuukiza Yezu mu bafu, Naffe alituzuukiza, olwo ne tuddawo. |
2. | Sop: Eyazuukiza oyo naffe alituzuukiza Mwoyo x3. Bass: 1. Mwoyo ow‟obulamu 2. Ky‟ava atugumya. 3. Kye tuva tunywera – kye tuva tunywera ffe Sop: Kye tuva tunywera ffe |
By: |