Indirimbo ya 472 mu CATHOLIC LUGANDA
472. TITULABANGA
Ekidd: | |
: Titulabanga wadde okumanya wadde okulegako, Ku birungi by’ategese -Ddunda By’ategese olw’abo abamwagala, mikwano gye -Ddunda By’ategese olw’abo abamwagala, mikwano gye. | |
1. | 1. Tuli balamazi ffe batambuze, ku nsi kuno tuli bayise, Twesunga ffe tulinda nnyo, okutuuka gye tulibeera, Bye tuyita ebyaffe bitono nnyo, ebingi biriba eri, Eby‟eno biyita ne biggwaawo, eby‟eri bye by‟olubeerera. Obulamu obw‟eno bwa luwunguko, obw‟eri bwe bw‟olubeerera. |
2. | 2a. Abaliba balwanye – Abazira ennyo Abaliba bakuumye – Endagaano Be balibeera eyo mu ggulu eri ffe gye tulaga abalamazi. b. Abeevaamu abo – Ne bamusenga Abeewaayo abo – Ne bamuweereza Be balibeera eyo mu ggulu eri mu maaso g‟Akaliga. c. Abaliba bakuumye – Ebiragiro Ne babonaabona abo- Olw‟erinnya lye Be balituula abo ku mukono gwe, ku gwa ddyo gw‟Akaliga. |
3. | 3. Ffenna twesunga – Tulituukayo Singa tulinyweza – By‟atugamba oli Singa twekemba – Ne twevaamu Bwo obulamu era – Tulibufuna eri Nga walungi nnyo – Gye tulibeera Nga beesiima – Abamwagala oli Ku nsi tulidooba – Olw‟erinnya lye Eri tulisanyuka, talitujuza oli, Katonda, Katonda, Katonda. |
By: Fr. Expedito Magembe |