Indirimbo ya 474 mu CATHOLIC LUGANDA
474. TWALA BYONNA BYE NNINA
1. | (Fr. James Kabuye) 1. Mu mikono gyo Ayi Mukama, mwe ntadde omwoyo gwange, Siibula omuddu wo agende kati, Siibula, omuddu wo agende mirembe. x2 Ekidd.: Twala byonna bye nnina, twala byonna bye nnina Twala omutima guugwo, twala, twala, twala Lugaba Byonna bye nnina. |
2. | 2. Mu buyinza bwo ayi Mukama, mwe ntadde essuubi lyange, Siibula omuddu wo agende kati, Siibula, omuddu wo agende mirembe. x2 |
3. | 3. Mu magezi go ayi Mukama mwe ntadde omwoyo gwange, Siibula omuddu wo agende kati, Siibula, omuddu wo agende mirembe. x2 |
4. | 4. Nze mba mugumu ayi Mukama Ggwe bw‟oba mu mwoyo gwange, Siibula omuddu wo agende kati, Siibula, omuddu wo agende mirembe. x2 |
5. | 5. Mu mikono gyo ayi Mukama mwe nzigya eddembe lyange, Siibula omuddu wo agende kati, Siibula, omuddu wo agende mirembe. x2 |
6. | 6. Abakumanyi ayi Mukama mu byonna bakwesiga sso, Siibula omuddu wo agende kati, Siibula, omuddu wo agende mirembe. x2 |
7. | 7. Okuzuukira ayi Mukama nze bwe nfa nkulindiridde, Siibula omuddu wo agende kati, Siibula, omuddu wo agende mirembe. x2 |
By: |