Indirimbo ya 475 mu CATHOLIC LUGANDA
475. WA GYE NDISANGA YANTONDA?
1. | (Joseph Kyagambiddwa) 1. Wa gye ndisanga eyantoda? Mm x2 Anandaga ekkubo ani? Laba gye tugenda x2 Ekidd.: Ffe gye tulaga, ka tulamage; Liiryo ekkubo mwe tusimbye, Sso nno olugendo luwanvu ddala; ewa Katonda, laba gye tugenda! Ka tusanyuke, ali mu ggulu, ye Mukama, tumuganze, Gy’ali wala, Lugaba Ssenkulu, ewa Katonda laba gye tugenda. |
2. | 2. Ki, gwe njagala atakka eno! Mm x2 Waggulu gy‟asula ave! x2 Laba gye tugenda x2 |
3. | 3. Bo, b‟ayagala beesiimye! Mm x2 Atabajuza kantu! Laba gye tugenda x2 |
4. | 4. Oh, Ssebirungi omwegombwa! Mm x2 Erinnya lyo litiibwe! Laba gye tugenda x2 |
5. | 5. Ggwe, gwe ndowooza, ojje ontwale, Mm x2 Katonda, gy‟oli, mbeere! Laba gye tugenda x2 |
By: |