Indirimbo ya 479 mu CATHOLIC LUGANDA
479. AMATENDO G’ABATUUKIRIVU
1. | (Fr. James Kabuye) Ayi Mukama tusaasire Ayi Mukama tusaasire Ayi Kristu tusaasire Ayi Kristu tusaasire Ayi Mukama tusaasire Ayi Mukama tusaasire Maria Omutuukirivu, Nnyina Katonda Otusabire Mikaeli Omutuukirivu Otusabire Bamalayika ba Katonda Abatuukirivu Mutusabire Yozefu Omutuukirivu Tusabire Yoanna Batista Omutuukirivu Tusabire Petero ne Paulo Abatuukirivu Mutusaabire Andrea Omutuukirivu Tusabire Yoanna Omutuukirivu ,, Maria Magdalena Omutuukirivu ,, Stefano Omutuukirivu ,, Laurensio Omutuukirivu ,, Inyansio ow‟e Antiokia Omutuukirivu ,, Anyense Omutuukirivu ,, Perpertua ne Felista Abatuukirivu Mutusabire Gregori Omutuukirivu Tusabire Augustino Omutuukirivu ,, Atanansi Omutuukirivu ,, Basilio Omutuukirivu ,, Martini Omutuukirivu ,, Benedikito Omutuukirivu ,, Fransisko Zaverio Omutuukirivu ,, Fransisko ne Dominiko Abatuukirivu Mutusabire Yoanna Maria Vianney Omutuukirivu Tusabire Tereza Omutuukirivu ,, Katalina ow‟e Sienna Omutuukirivu ,, Lwanga, Mulumba ne Bannammwe Abatuukirivu Mutusabire Mwenna Abatuukirivu ba Katonda abasajja n‟abakazi Mutusabire Tukwatirwe ekisa Tuwonye ayi Mukama Buli kabi konna ,, Okufa emirembe gyonna ,, Olw‟okuba weefuula omuntu ,, Olw‟okutuyiira Mwoyo Mutuukirivu ,, Ffe aboonoonyi Tukusaba tuwulire Klezia wo Omutukuvu, kkiriza omulambike n‟okumukuuma, Paapa na bonna abali mu madaala g‟Eklezia, banyweze mu ddiini obakuume Tukusaba tuwulire Amawanga gonna gawe eddembe n‟okussa ekimu ,, Naffe ffennyini tunyweze mu kukuweereza otukuumiremu. ,, Bano b‟olonze bawe omukisa ,, Bano b‟olonze bawe omukisa, obatukuze …. ,, Bano b‟olonze bawe omukisa, obatukuze, obafuule babo ,, Yezu Omwana wa Katonda omulamu ,, Ayi Kristu tuwulirize Ayi Kristu tuwulire. |
By: |