Indirimbo ya 482 mu CATHOLIC LUGANDA
482. BAKUUME BALEME KUGWA
1. | (Ponsiano Ssali) Ekidd.: Bakuume baleme kugwa mu kabi, Batukuze mu mazima g’Ekigambo kyo. x2 |
2. | 1. Erinnya lyo nnalimanyisa abo be wampa Baali babo n‟obampa ng‟obaggya mu nsi Ne bakwata Ekigambo kyo. |
3. | 2. Ebigambo byo nnabibabuulira ne babisiima Ne bategeerera ddala ne bakkiriza nga Ggwe wantuma. |
4. | 3. Beebo nze be nsabira, anti si ba nsi eno wabula babo ku bubwo Kitange era beebo abangulumiza. |
5. | 4. Kitange Omutuukirivu abo be wampa sikusaba kubaggya mu nsi Wabula banyweze mu linnya lyo babeere kimu nga ffe. |
6. | 5. Nga bwe wantuma mu nsi, nange bwe mbatumye mu nsi Nze nneetukuza okubeera bo, nabo balyoke beetukuze mu mazima. |
By: |