Indirimbo ya 483 mu CATHOLIC LUGANDA
483. BAYAMBE AYI MUKAMA
Ekidd: | |
: Bayambe ayi Mukama anti bakwemaliddeko. x2 | |
1. | 1. Weewale ekibi, kola bulungi, Olyoke osigalewo emirembe gyonna. x2 |
2. | 2. Kubanga Omukama ayagala obutuufu, Talekerera, batuukirivu be. x2 |
3. | 3. Bo batuufu wonna, balirya, ensi eno, Ne bagibeerako emirembe gyonna. x2 |
4. | 4. Weesige Katonda, ekkubo lye likwate, Alikusenvuza n‟olya ensi. x2 |
5. | 5. Bwo obulokofu obw‟abatuufu, bwava wa Mukama, Kye kiddukiro, mu budde obw‟ennaku. x2 |
By: Fr. James Kabuye |